2 Samuel 14:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'amubuuza nti: “Yowabu tali naawe mu bintu bino byonna?” Omukazi n'ayanukula, n'agamba nti: “Mazima ggwe ng'oli mulamu, mukama wange kabaka, tewali ayinza kuwunjuka kudda ku ddyo oba ku kkono n'ava ku mukama wange kabaka ky'aba agambye. Kituufu yabadde Yowabu eyandagidde okukola kino; yennyini ye yaŋŋambye njogere ebigambo bino byonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’amubuuza nti, “Omukono gwa Yowaabu guli wamu naawe mu bigambo ebyo byonna?” Omukazi n’amuddamu nti, “Nga bw’oli omulamu mukama wange kabaka, tewali ayinza okukubuzaabuza ng’adda ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono okukuggya ku ky’oyogera mukama wange kabaka. Weewaawo, omuddu wo Yowaabu yeyandagidde, n’ampa n’ebigambo ebyo byonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka n'amubuuza nti, “Mu bino byonna by'oyogedde mulimu omukono gwa Yowaabu?” Omukazi n'addamu n'ayogera nti, “Nga ggwe bw'oli omulamu, mukama wange kabaka, tewali ayinza okukyama ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono okuva ku kigambo kyonna mukama wange kabaka ky'ayogedde; kubanga omuddu wo Yowaabu ye yandagira, era ye yaweerera omuzaana wo ebigambo bino byonna;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'amubuuza nti: “Yowaabu yateesezza naawe mu bino byonna?” Omukazi n'addamu nti: “Nga bw'oli omulamu, ayi mukama wange kabaka, tewali ayinza kubuzaabuza okweggya ku ekyo, ayi mukama wange kabaka ky'oyogedde, kubanga omuweereza wo Yowaabu ye yandagidde era ye yaŋŋambye ebyo byonna bye njogedde nze omuweereza wo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka n'ayogera nti Omukono gwa Yowaabu guli naawe mu bino byonna? Omukazi n'addamu n'ayogera nti Nga ggwe bw'oli omulamu, mukama wange kabaka, tewali ayinza okukyama ku mukono ogwa ddyo newakubadde ku gwa kkono okuva ku kigambo kyonna mukama wange kabaka ky'ayogedde: kubanga omuddu wo Yowaabu ye yandagira, era ye yaweerera omuzaana wo ebigambo bino byonna: