2 Samuel 14:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Yowabu n'atuma e Tekowa, n'aggyayo omukazi omugezi, n'amugamba nti: “Weefaananye ng'ali mu kukungubaga; teekako ebyambalo by'okukungubaga; teweesiiga muzigo, ofaanane ng'omukazi amaze ebbanga eggwanvu ennyo ng'okaabira eyakufaako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yowaabu n’atumya omukazi omugezigezi okuva e Tekowa, n’amugamba nti, “Weefuule akungubaga, oyambale engoye ez’okukungubaga, teweesiiga mafuta, obeere ng’omukyala amaze ennaku ennyingi ng’akungubagira omufu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yowaabu n'atumya omukazi ow'amagezi okuva e Tekowa n'amugamba nti, “Nkwegayiridde, weefuule ng'afiiriddwa, oyambale ebyambalo eby'okufiirwa, era tosaaba mafuta, naye weefuule ng'omukazi eyaakamala ebiro ebingi ng'akungubagira omufu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'atyo Yowaabu n'atumya omukazi omugezi e Tekowa. Bwe yatuuka n'amugamba nti: “Weefuule afiiriddwa, oyambale ebyambalo eby'okukungubaga, era teweesiiga wadde akazigo, obeere ng'amaze ebbanga eddene ng'okungubagira omufu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yowaabu n'atuma e Tekowa n'akimayo omukazi ow'amagezi n'amugamba nti Nkwegayiridde, weefuule ng'afiiriddwa, oyambale ebyambalo eby'okufiirwa, nkwegayiridde, so tosaaba mafuta, naye weefuule ng'omukazi eyaakamala ebiro bingi ng'akaabira omufu: