2 Samuel 14:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuweereza wo Yowabu ye yakikoze, alongoose embeera nga bw'eri. Ggwe nno, mukama wange, oli mugezi nga malayika wa Katonda; kyova otegeera byonna ebikolebwa ku nsi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuddu wo Yowaabu, ekyo y’akikoze okukyusa embeera eriwo kaakano. Naye mukama wange mugezigezi nga malayika wa Katonda amanyi byonna ebifa ku nsi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olw'okwagala okukyusa ebiriwo, omuddu wo Yowaabu kye yavudde akola bw'atyo. Era ggwe mukama wange, oli mugezi nga malayika wa Katonda, okumanya byonna ebiri mu nsi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olw'okwagala okukyusa ebiriwo, omuweereza wo Yowaabu kye yavudde akola bw'atyo. Era ggwe Mukama wange, oli mugezi nga malayika wa Katonda, okumanya byonna ebiri mu nsi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
okuwaanyisa ekigambo bwe kifaanana omuddu wo Yowaabu kyavudde akola kino: era mukama wange mugezigezi ng'amagezi bwe gali aga malayika wa Katonda, okumanya byonna ebiri mu nsi.