2 Samuel 14:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowabu n'agwa wansi ku maaso ge ku ttaka, n'avunnama, n'asabira kabaka omukisa. Yowabu n'agamba nti: “Olwa leero omuweereza wo ategedde nti asanze ekisa mu maaso go, mukama wange kabaka, kubanga okoze omuweereza wo ky'asabye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yowaabu n’agwa bugazi ku ttaka ne yeeyanza, n’asabira kabaka omukisa, n’ayogera nti, “Leero, omuddu wo ategedde ng’alabye ekisa mu maaso go, mukama wange kabaka, kubanga kabaka azeemu okwegayirira okw’omuddu we.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yowaabu n'avuunama, ne yeeyanza, ne yeebaza kabaka; n'ayogera nti, “Leero omuddu wo aganze mu maaso go, mukama wange, ayi kabaka, kubanga kabaka akoze omuddu we ky'amusabye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yowaabu n'avuunama okussaamu kabaka ekitiibwa, n'amwebaza ng'agamba nti: “Kaakano nze omuweereza wo ntegedde ng'onjagala ayi mukama wange kabaka, kubanga ayi kabaka okkirizza nze omuweereza wo kye nkusabye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yowaabu n'avuunama amaaso ge, ne yeeyanza, ne yeebaza kabaka: Yowaabu n'ayogera nti Leero omuddu wo amanyi nga ŋŋanze mu maaso go, mukama wange, ai kabaka, kubanga kabaka akoze omuddu we ky'amwegayiridde.