2 Samuel 14:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kabaka n'agamba nti: “Addeyo mu nnyumba ye, saagala ansisinkane.” Abusalomu n'addayo mu nnyumba ye; teyasisinkana kabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kabaka n’awa ekiragiro nti, “Ateekwa kugenda mu nnyumba eyiye ku bubwe, tateekwa kulaba maaso gange.” Awo Abusaalomu n’abeera mu nnyumba eyiye ku bubwe, n’atalaba maaso ga kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka n'ayogera nti, “Addeyo mu nnyumba ye ye, naye aleme okujja mu maaso gange.” Awo Abusaalomu n'addayo mu nnyumba ye, n'atalaba maaso ga kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka n'agamba nti: “Agende mu nnyumba eyiye, era aleme okujjanga mu maaso gange.” Awo Abusaalomu n'abeera mu nnyumba eyiye, n'atajjanga mu maaso ga kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka n'ayogera nti Addeyo mu nnyumba ye ye, naye aleme okulaba amaaso gange. Awo Abusaalomu n'addayo mu nnyumba ye, n'atalaba maaso ga kabaka.