2 Samuel 14:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu Yisirayeli mwonna temwali musajja atendebwa nnyo bulungi nga Abusalomu; okuva ku mutwe okutuuka ku bigere nga taliiko kamogo na kamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu Isirayiri yonna temwali n’omu eyatenderezebwa nga Abusaalomu olw’endabika ye ennungi, kubanga okuviira ddala ku mutwe okutuuka ku bigere teyaliiko kamogo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo mu Isiraeri yenna temwali muntu n'omu alabika bulungi nga Abusaalomu; okuva wansi ku bigere okutuuka ku bwezinge bw'omutwe gwe nga taliiko kabi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu Yisirayeli yonna, temwali muntu mulungi mu ndabika ye nga Abusaalomu. Okuva wansi ku bigere bye okutuuka ku mutwe gwe ku bwetikkiro, teyaliiko kamogo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo mu Isiraeri yenna temwali n'omu wa kutenderezebwa nga Abusaalomu olw'obulungi bwe: okuva ku bigere bye wansi okutuuka ku bwezinge bw'omutwe gwe nga taliiko kabi.