2 Samuel 14:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yamwanga enviiri ze, ng'azipima. Anti yateranga okumwa enviiri ze buli mwaka kubanga zamuzitowereranga. Zaazitowanga sekeli ebikumi bibiri, mu sekeli za kabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli lwe yasalanga enviiri ze, lwe zali ng’ennyingi ku mutwe gwe, obuzito bw’azo bw’ali nga kilo bbiri ne desimoolo ssatu ng’ebipimo bya kabaka bwe byali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli nkomerero ya mwaka, Abusaalomu yasalanga enviiri ku mutwe gwe, kubanga zaamuzitoowereranga. Bwe yazisalanga, n'azipima, zaawezanga sekeri bibiri (200), ng'okupima kwa kabaka bwe kwali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli nkomerero ya mwaka, Abusaalomu yasalanga enviiri ku mutwe gwe, kubanga zaamuzitoowereranga. Bwe yazisalanga, n'azipima, zaawezanga kilo bbiri mu bipimo bya kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yasalanga enviiri ze, (era buli mwaka bwe gwaggwangako n'azisalanga: kubanga, zaamuzitoowereranga kyeyava azisala:) n'apima enviiri ez'oku mutwe gwe ne ziba sekeri ebikumi bibiri, ng'okupima kwa kabaka bwe kwali.