2 Samuel 14:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'atuma ewa Yowabu ajje amutume ewa kabaka, naye Yowabu teyajja. N'atumayo omulundi omulala, era n'agaana okujja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abusaalomu n’atumya Yowaabu amutume eri kabaka, naye Yowaabu n’atagendayo. N’amutumya omulundi ogwokubiri, naye era n’agaana okugenda yo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abusaalomu n'atumya Yowaabu, okumutuma eri kabaka; naye n'atakkiriza kujja gy'ali; awo n'atumya nate omulundi ogwokubiri, era n'atakkiriza kujja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abusaalomu n'atumira Yowaabu, amutume eri kabaka, kyokka Yowaabu n'atakkiriza kujja gy'ali. Abusaalomu n'amutumya omulundi ogwokubiri, era Yowaabu n'agaana okujja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abusaalomu n'atumya Yowaabu, okumutuma eri kabaka; naye n'atakkiriza kujja gy'ali: awo n'atumya nate omulundi ogw'okubiri, naye n'atakkiriza kujja.