2 Samuel 14:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kwe kugamba abaweereza be nti: “Mulabe, ennimiro ya Yowabu eriraanye eyange, mulimu sayiri. Mugende mugiteekere omuliro.” Abaweereza ba Abusalomu ne bateekera ennimiro omuliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abusaalomu n’agamba abaddu be nti, “Ennimiro ya Yowaabu eriraanye eyange, era alinamu sayiri. Mugende mugikumeko omuliro.” Awo abaddu ba Abusaalomu ne bagikumako omuliro ne bagyokya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyeyava agamba abaddu be nti, “Laba ennimiro ya Yowaabu eya Sayiri eriraanye n'eyange; mugende mugyokye.” Awo abaddu ba Abusaalomu ne bagyokya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abusaalomu n'agamba abaweereza be nti: “Mugende mwokye omusiri gwa Yowaabu ogw'eŋŋaano oguliraanye n'ogwange.” Ne bagenda ne bagwokya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyeyava agamba abaddu be nti Laba, ennimiro ya Yowaabu eriraanye n'eyange, era alina sayiri eyo; mugende mugyokye. Awo abaddu ba Abusaalomu ne bookya ennimiro.