2 Samuel 14:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowabu n'asituka, n'ajja ewa Abusalomu mu nnyumba ye, n'abuuza nti: “Lwaki abaweereza bo baateekedde ennimiro yange omuliro?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yowaabu n’agolokoka n’agenda eri Abusaalomu mu nnyumba ye n’amubuuza nti, “Lwaki abaddu bo bookezza ennimiro yange?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yowaabu n'alyoka asituka n'agenda eri Abusaalomu mu nnyumba ye n'amubuuza nti, “Abaddu bo bookedde ki ennimiro yange?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yowaabu n'asituka n'agenda ewa Abusaalomu, n'amubuuza nti: “Lwaki abaweereza bo bookezza omusiri gwange?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yowaabu n'alyoka agolokoka n'ajja eri Abusaalomu mu nnyumba ye n'amugamba nti Abaddu bo bookedde ki ennimiro yange?