2 Samuel 14:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abusalomu n'ayanukula Yowabu nti: “Laba, nakutumira, ne nsaba nti jjangu nkutume ewa kabaka omumbuulize nti: ‘Naviira ki e Gessuru? Kyandisinzeeko singa nasigalirayo ddala’. Kale nno nsaba nsisinkane kabaka. Oba ndiko ekibi ekinvunaanibwa, anzite.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abusaalomu n’agamba Yowaabu nti, “Laba, nakutumya, nga ŋŋamba ojje wano nkutume eri kabaka okumubuuza nti, ‘Lwaki nava e Gesuli? Kyandisinze singa nasigala eyo.’ Kaakano njagala kugenda mu maaso ga kabaka, obanga nnina omusango, anzite.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abusaalomu n'addamu Yowaabu nti, “Laba nnakutumira nga njogera nti, ‘Jjangu nkutume eri kabaka, omubuuze nti Naviira ki e Gesuli? Kyandibadde kirungi ne mbererayo ddala okutuusa kaakati; kale ka ŋŋende ndabe amaaso ga kabaka, oba nga nnina omusango gwonna anzite.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abusaalomu n'addamu Yowaabu nti: “Laba nakutumira nga ŋŋamba nti: ‘Jjangu wano, nkutume eri kabaka okumubuuza nti naviira ki e Gesuri? Waakiri nandisigadde eyo n'okutuusa kati. Kale kaakano ka ŋŋende ndabe kabaka. Era oba nga nnina omusango, anzite.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abusaalomu n'addamu Yowaabu nti Laba nakutumira nga njogera nti Jjangu wano, nkutume eri kabaka okwogera nti Njijiridde ki okuva e Gesuli? mbeera kubeera eyo ne kaakano kyandibadde kirungi gye ndi: kale nno ndabe amaaso ga kabaka; era oba nga mulimu obutali butuukirivu mu nze, anzite.