2 Samuel 14:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yowabu n'agenda ewa kabaka n'amubuulira. Kabaka n'atumya Abusalomu, n'ajja ewa kabaka, n'agwa ku ttaka mu maaso ge nga yeevuunise ku maaso ge, n'avunnama. Kabaka n'anywegera Abusalomu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yowaabu n’agenda eri kabaka, n’amutegeeza ebigambo ebyo. Kabaka n’atumya Abusaalomu, n’ajja, n’avuunama amaaso ge wansi mu maaso ga kabaka. Kabaka n’amunywegera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yowaabu n'ajja eri kabaka n'amubuulira; kabaka n'ayita Abusaalomu, bwe yagenda gyali n'avuunama mu maaso ge; kabaka n'anywegera Abusaalomu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yowaabu n'agenda eri kabaka n'amubuulira. Abusaalomu n'ajja eri kabaka, n'avuunama mu maaso ge. Kabaka n'anywegera Abusaalomu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yowaabu n'ajja eri kabaka n'amubuulira: awo bwe yayita Abusaalomu, n'ajja eri kabaka, n'avuunama amaaso ge mu maaso ga kabaka: kabaka n'anywegera Abusaalomu.