2 Samuel 14:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukazi w'omu Tekowa bwe yayingira ewa kabaka, n'agwa wansi ku maaso ge ku ttaka, n'avunnama, n'agamba nti: “Mponya, ayi kabaka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omukazi ow’e Tekowa n’agenda eri kabaka, n’avuunama amaaso ge ku ttaka, ne yeeyanza, n’ayogera nti, “Mbeera, ayi kabaka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omukazi ow'e Tekowa n'ayingira eri kabaka, n'avuunama ne yeeyanza n'ayogera nti, “Mbeera, ayi kabaka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omukazi ow'e Tekowa n'agenda eri kabaka, n'avuunama okumuwa ekitiibwa. N'amugamba nti: “Ayi Ssaabasajja, nnyamba!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omukazi ow'e Tekowa bwe yayogera ne kabaka, n'avuunama amaaso ge ne yeeyanza n'ayogera nti Mbeera, ai kabaka.