2 Samuel 14:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuzaana wo yalina abaana babiri abaweereza; baayombera eyo ku ttale nga tewali muntu kubatawulula; omu n'akuba munne n'amutta.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nalina batabani bange babiri. Bombi baalwanira ku ttale ne wataba n’omu abataasa, omu n’atta munne.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuzaana yalina abaana babiri, ne balwanira ku ttale nga tewali abataasa, omu n'afumita munne n'amutta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nalina batabani bange babiri, ne balwanira ku ttale nga tewali abataasa, omu n'akuba munne n'amutta.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omuzaana wo yalina abaana babiri, ne balwana bombi ku ttale, so nga tewali wa kubataasa, naye omu n'afumita munne n'amutta.