2 Samuel 14:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate wuuno kati ab'oluganda bonna balumbye omuzaana wo, bagamba nti: ‘Mutuwe oyo eyatta muganda we tumutte olw'okubeera obulamu bwa muganda we gwe yatta, olwo tusangulirewo ddala n'omusika.’ Baagala okuzikiza eryanda lyange erimu liti lye nsigazizza, baze aleme kusigaza linnya ku nsi na zzadde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano ekika kyonna kiyimukidde omuweereza wo, nga boogera nti, ‘Tuwe omusajja oyo asse muganda we, tumutte olw’obulamu bwa muganda we gwe yatta, tutte n’omusika.’ Mu ngeri eyo banaaba bazikizza etabaaza yokka gye nsigazza, obutalekaawo linnya lya baze wange newaakubadde obusika bwe ku nsi yonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale kaakano, ekika kyonna kingolokokeddeko nga boogera nti, ‘Waayo oyo eyafumita muganda we tumutte olw'obulamu bwa muganda we gwe yatta,’ bwe tutyo tutte n'omusika. Bwe banaakola bwe batyo banaaba bazikiza eryanda lyange erisigaddewo, ne batamulekera baze linnya newakubadde ekitundu ekifisseewo ku ttaka lyonna. Kale bwe banaamutta n'aba nsigadde sirina mwana era nga bazikirizza erinnya lya baze nga talinawo zzadde lisigaddewo ku nsi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kaakano ab'ekika bonna bannyimukiddemu nze omuweereza wo. Baŋŋamba nti: ‘Waayo oyo eyatta muganda we, tumutte olw'okutta muganda we, bwe tutyo tutte n'omusika.’ Kale bwe banaamutta, nnaaba nsigaliddewo nga sirina mwana, era banaaba bazikirizza erinnya lya baze, nga talinaawo zzadde lisigaddewo ku nsi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, laba, ekika kyonna kimugolokokeddeko omuzaana wo era bayogera nti Waayo oyo eyafumita muganda we tumutte olw'obulamu bwa muganda we gwe yatta; tutte bwe tutyo n'omusika: kale bwe batyo banaazikiza eryanda lyange erisigaddewo, ne batamulekera baze linnya newakubadde ekitundu ekifisseewo ku ttaka lyonna.