2 Samuel 14:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'agamba omukazi nti: “Weddireyo eka, nzija kubaako kye ndagira ku bikukwatako.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka n’agamba omukazi nti, “Ddayo eka, nzija kukola ku nsonga yo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'agamba omukazi nti, “Ddayo ewuwo, ensonga zo nja kuzikolako.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'agamba omukazi oyo nti: “Ddayo ewuwo, nja kulagira, ensonga zo zikolebweko.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'agamba omukazi nti Genda ewuwo, nange n'alagira ebigambo byo bwe binaaba.