2 Samuel 14:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukazi ow'e Tekowa n'agamba kabaka nti: “Ayi Mukama wange kabaka, leka omusango gubeere ku nze ne ku nnyumba ya kitange; ye kabaka ne nnamulondo ye tebaliiko musango.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye omukazi ow’e Tekowa n’agamba kabaka nti, “Mukama wange kabaka, omusango ka gubeere ku nze, n’ennyumba ya kitange; kabaka n’obwakabaka bwe buleme kubeerako musango.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omukazi ow'e Tekowa n'agamba kabaka nti, “Mukama wange, ayi kabaka, obutali butuukirivu bube ku nze ne ku nnyumba ya kitange; kabaka abe nga taliiko musango n'entebe ye ey'obwakabaka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omukazi oyo ow'e Tekowa n'agamba kabaka nti: “Mukama wange, ayi kabaka, omusango gubeere ku nze ne ku b'ennyumba ya kitange. Ggwe, ayi kabaka, n'entebe yo ey'obwakabaka, obe nga toliiko musango.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omukazi ow'e Tekowa n'agamba kabaka nti Mukama wange, ai kabaka, obutali butuukirivu bube ku nze ne ku nnyumba ya kitange: kabaka abe nga taliiko musango n'entebe ye ey'obwakabaka.