2 Samuel 15:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma, Abusalomu ne yeekolera ekigaali n'afuna n'embalaasi n'abasajja amakumi ataano ab'okumukulemberangamu nga badduka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe waayitawo ebbanga, Abusaalomu ne yeefunira amagaali, n’embalaasi, n’abasajja amakumi ataano okumukulemberangamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo oluvannyuma lw'ebyo, Abusaalomu ne yeetegekera eggaali n'embalaasi n'abasajja ataano (50) okumukulemberanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo bwe byaggwa, Abusaalomu ne yeetegekera ekigaali n'embalaasi, n'abasajja amakumi ataano abamukuuma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo Abusaalomu ne yeetegekera eggaali n'embalaasi n'abasajja ataano okuddukiranga mu maaso ge.