2 Samuel 15:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abusalomu n'atuma ababaka mu nkiso mu bibuga bya Yisirayeli byonna, ng'agamba nti: “Olunaawulira eddoboozi ly'eŋŋombe, mugambe nti: ‘Abusalomu ye kabaka mu Keburoni.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abusaalomu n’atuma ababaka kyama mu bika byonna ebya Isirayiri, babagambe nti, “Amangwago nga muwulidde okuvuga kw’amakondeere, mwogere nti, ‘Abusaalomu ye kabaka e Kebbulooni.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Abusaalomu n'atuma ababaka okubunya ebika byonna ebya Isiraeri ng'ayogera nti, “Bwemunaawulira eddoboozi ly'ekkondeere ne mulyoka mwogera nti, ‘Abusaalomu ye kabaka e Kebbulooni.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo n'atuma mu bubba ababaka mu Bika byonna ebya Yisirayeli ng'agamba nti: “Bwe munaawulira eddoboozi ly'amakondeere, ne mulyoka mugamba nti: ‘Abusaalomu ye kabaka mu Heburooni!’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Abusaalomu n'atuma ababaka okubunya ebika byonna ebya Isiraeri ng'ayogera nti Bwemunaawulira eddoboozi ly'ekkondeere ne mulyoka mwogera nti Abusaalomu ye kabaka e Kebbulooni.