2 Samuel 15:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja ebikumi bibiri ne bagenda ne Abusalomu okuva mu Yeruzaalemu; baayitibwa buyitibwa, ne bagenda mu mutima mulungi, tebaamanya kantu konna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja ebikumi bibiri be baawerekera Abusaalomu oluvannyuma olw’okuyitibwa ng’abagenyi, songa tebaalina kye baamanya ku nsonga eyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abusaalomu n'agenda n'abasajja bibiri (200), abaava e Yerusaalemi ne bagenda nga tebamanyiridde; so nga tebamanyi kigambo kyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era Abusaalomu okuva e Yerusaalemu, yagenda n'abasajja ebikumi bibiri be yayita babe abagenyi be, abaagenda mu mutima omulungi, nga tebalina kye bamanyi ku ntegeka ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ne wagenda ne Abusaalomu abasajja ebikumi bibiri abaava e Yerusaalemi, abaayitibwa ne bagenda nga tebamanyiridde; so tebaategeera kigambo kyonna.