2 Samuel 15:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abusalomu bwe yali atambira ebitambiro, n'atumya ne Akitofeli Omugilo omuwi w'amagezi owa Dawudi, ave mu kibuga kye e Gilo abeewo. Olukwe ne lufuna amaanyi, abantu ne bagenda nga beeyongera okwegatta ku Abusalomu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo, Abusaalomu bwe yali ng’awaayo ssaddaaka, n’atumya Akisoferi Omugiro, omuwi w’amagezi owa Dawudi, okuva mu kibuga ky’e Giro. Obujeemu ne bwongerwamu amaanyi n’abagoberezi ba Abusaalomu ne beeyongeranga obungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abusaalomu n'atumya Akisoferi ow'e Giro, omuwi w'amagezi owa Dawudi, ajje amwegatteko. Okwekobaana ne kuba kw'amaanyi, abeekobaana ne Abusaalomu ne bagenda nga beeyongera obungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abusaalomu bwe yali ng'awaayo ekitambiro, n'atumya Ahitofeeli Omugiilo omuwi w'amagezi owa Dawudi, ave mu kibuga kye e Giilo, ajje. Okwekoba ne kuba kwa maanyi, abeekoba ne Abusaalomu ne bagenda nga beeyongera obungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abusaalomu n'atumya Akisoferi Omugiro, eyateesanga ebigambo ne Dawudi, okuva mu kibuga kye, e Giro, ng'awaayo ssadaaka. Okwekoba okwo ne kuba n'amaanyi; kubanga abantu beeyongerayongeranga bulijjo abaali ne Abusaalomu.