2 Samuel 15:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'agamba abakungu be abaali naye mu Yeruzaalemu nti: “Musituke, tudduke, oba si ekyo tuyinza obutafuna we tuddukira Abusalomu. Mwanguweeko okufuluma, sikulwa ng'atukwatira wano, n'atusaanyaawo ffenna, n'ekibuga n'akitta n'obwogi bw'ekitala.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’agamba abakungu be bonna abaali naye e Yerusaalemi nti, “Mugolokoke tudduke kubanga bwe tutaakole bwe tutyo tewaabeewo n’omu ku ffe anaawona Abusaalomu. Tuteekwa okuvaawo amangu nga bwe kisoboka, aleme okutusaangiriza wano okusaanyaawo ekibuga n’ekitala.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'agamba abaddu be bonna abaali naye nti, “Tudduke; bwe tutadduke, tewaabeewo n'omu ku ffe anaawona Abusaalomu. Mwanguwe okugenda, aleme kututukako kutuletako kabi, n'atta abantu ab'omu kibuga n'obwogi obw'ekitala.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi n'agamba abaweereza be bonna abaali naye mu Yerusaalemu nti: “Tusituke, tudduke. Bwe tutadduke, tewaabeewo n'omu ku ffe anaawona Abusaalomu. Mwanguwe okugenda, sikulwa ng'atutuukako amangu, n'atukolako akabi, n'atta ab'omu kibuga bonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'agamba abaddu be bonna abaali naye e Yerusaalemi nti Tugolokoke tudduke; bwe tutadduke tewaabeewo ku ffe anaawona Abusaalomu: mwanguwe okugenda, aleme okututuukako amangu n'atuleetako akabi, n'atta ekibuga n'obwogi bw'ekitala.