2 Samuel 15:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'agenda n'abantu be bonna nga bamuvaako emabega, ne bayimirirako ku nnyumba esembayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’abantu bonna abaagenda naye, bwe baatambulako akabanga, ne batuuka mu kifo ekimu ewalako n’olubiri ne bayimirira awo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'afuluma abantu bonna ne bamugoberera; ne babeera e Besu-meraki.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka n'afuluma, abantu bonna ne bamugoberera, n'ayimirira ku nnyumba esembayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'afuluma, abantu bonna ne bamugoberera; ne babeera e Besu-meraki.