2 Samuel 15:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'agamba Yittayi Omugitti nti: “Lwaki naawe ojja naffe? Weddireyo obeere ne kabaka, kubanga oli mugwira; oli muwaŋŋanguse okuva ewammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka n’agamba Ittayi Omugitti nti, “Lwaki otugoberera? Ddayo obeere ne kabaka Abusaalomu. Oli munnaggwanga eyagobebwa ewaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'agamba Ittayi Omugitti nti, “Lwaki ggwe ogenda naffe? Ddayo obeere ne kabaka, kubanga oli munnaggwanga eyagobebwa. Ddayo ewammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka Dawudi n'agamba Yittayi Omugitti nti: “Lwaki naawe ogenda naffe? Ddayo obeere ne kabaka omuggya, kubanga oli mugwira era omunoonyi w'obubudamo, eyaleka amaka go.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'agamba Ittayi Omugitti nti Naawe ogendera ki naffe? ddayo obeere ne kabaka: kubanga oli mugenyi era eyagobebwa; ddayo ewuwo ggwe.