2 Samuel 15:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abusalomu bwe yazuukukanga ku makya, ng'ayimirira ku kkubo ery'oku mulyango gw'ekibuga. Buli musajja eyabangako ekizibu kye yalinga atwala okwanjula ewa kabaka, Abusalomu ng'amuyita gy'ali, ng'amugamba nti: “Ova mu kibuga ki?” Ng'amwanukula nti: “Omuweereza wo nva mu kika kino oba kiri ekya Yisirayeli.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yagolokokanga mu makya n’ayimirira ku mabbali g’ekkubo okwolekera wankaaki w’ekibuga. Omuntu yenna bwe yabanga n’ensonga gye yaleeteranga kabaka okulamula, Abusaalomu yamuyitanga n’amubuuza nti, “Oviira mu kibuga ki?” Bwe yaddangamu nti, “Omuddu wo aviira mu kimu ku bika bya Isirayiri,”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abusaalomu n'agolokokanga buli nkya n'ayimiriranga ku kkubo erya wankaaki w'ekibuga; omuntu yenna bwe yabanga n'ensonga emwetaagisa okulaba kabaka amulamula, Abusaalomu ng'amuyita n'amubuuza nti, “Oli wa ku kyalo ki?” N'amuddamu nti, “Omuddu wo ava mu kimu ku bika bya Isiraeri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abusaalomu n'azuukukanga mu makya n'ayimiriranga ku kkubo awali omulyango oguyingira mu kibuga. Awo omuntu bwe yajjanga ng'alina ensonga gy'ayagala kabaka amumalire, Abusaalomu ng'amuyita n'amubuuza nti: “Oli wa mu kibuga ki?” Omuntu oyo n'amuddamu nti: “Nze omuweereza wo ndi wa mu Kika gundi ekya Yisirayeli.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abusaalomu n'agolokokanga mu makya n'ayimirira ku kkubo erya wankaaki: awo olwatuuka omuntu yenna bwe yabanga n'ensonga eyali ey'okujja eri kabaka okusalirwa omusango, awo Abusaalomu n'amuyitanga n'amugamba nti Oli wa ku kyalo ki? N'ayogera nti Omuddu wo wa kika kimu kya Isiraeri.