2 Samuel 15:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jjo lwe watuuka, ate olwa leero nkuwalirize okugenda ng'obungeeta naffe, nze atamanyi na gye ndaga? Funyamu, zzaayo ne baganda bo. Ekisa n'obwesigwa bibeere naawe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wajja jjuuzi. Lwaki leero nkutambuza eno n’eri, nga ssinamanya gye ndaga? Ddayo n’abantu bo. Ekisa n’emirembe bibeerenga naawe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ggwe eyajja jjo, nnaakubungeesa ntya awamu naffe, nga nange simanyi gye ŋŋenda? Ddayo, ozzeeyo ne baganda bo; okusaasira n'amazima bibeere naawe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waakamala wano ekiseera kitono, kale kaakano nnaakubungeesa ntya wamu naffe, nga simanyi na gye nnyinza kugenda? Ddayo, ozzeeyo ne baganda bo, mwagalanenga era mubeerenga beesigwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ggwe eyajja olwa jjo, nandikutambuzizza eruuyi n'eruuyi wamu naffe leero, kubanga nze ŋŋenda gye nnyinza okugenda? ddayo, ozzeeyo ne baganda bo; okusaasira n'amazima bibeere naawe.