2 Samuel 15:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yittayi n'ayanukula kabaka n'agamba nti: “Mazima Omukama nga mulamu, naawe Mukama wange kabaka ng'oli mulamu, wonna mukama wange kabaka w'anaabeera, oba kitegeeza kufa oba bulamu, eyo n'omuweereza wo gy'anaabeera.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Ittayi n’addamu kabaka nti, “ Mukama nga bw’ali omulamu, era mukama wange kabaka nga bw’ali omulamu, buli mukama wange kabaka gy’anaagendanga, oba bulamu oba kufa, omuddu wo anaabeeranga wamu naawe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ittayi n'addamu kabaka n'ayogera nti, “Mukama nga bw'ali omulamu ne mukama wange kabaka nga bw'ali omulamu, mazima mu kifo kyonna mukama wange kabaka w'anaabanga, oba okufa oba okuba omulamu, eyo n'omuddu wo gy'anaabanga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yittayi n'ayanukula kabaka, n'agamba nti: “Mukama nga bw'ali omulamu, buli gy'onoogenda nange gye nnaagenda, ne bwe kinaaba nga kyetaagisa kufa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ittayi n'addamu kabaka n'ayogera nti Mukama nga bw'ali omulamu ne mukama wange kabaka nga bw'ali omulamu, mazima mu kifo kyonna mukama wange kabaka w'anaabanga, oba okufa oba okuba omulamu, eyo n'omuddu wo gy'anaabanga.