2 Samuel 15:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'agamba Yittayi nti: “Kale tambula, somoka.” Yittayi Omugitti n'asomoka n'abasajja be bonna n'ab'omu maka ge bonna abaali naye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’agamba Ittayi nti, “Kale yitawo ogende mu maaso.” Awo Ittayi Omugitti n’abasajja be bonna n’abantu baabwe abaali naye ne bayitawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'agamba Ittayi Omugitti nti, “Yitawo osomoke.” Ittayi Omugitti n'asomoka n'abasajja be bonna n'abaana abato bonna abaali naye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi n'agamba Yittayi nti: “Kale genda, yitawo!” Yittayi Omugitti n'ayitawo ne basajja be bonna, n'abantu abalala bonna be yali nabo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'agamba Ittayi nti Genda osomoke. Ittayi Omugitti n'asomoka n'abasajja be bonna n'abaana abato bonna abaali naye.