2 Samuel 15:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensi yonna yali ekuba ebiwoobe ng'abantu bonna basomoka. Oluvannyuma ne kabaka n'asomoka Ekiwonvu Kiduroni, abantu bonna ne bakwata ekkubo ery'eddungu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ab’omu byalo bonna ne bakaaba nnyo bwe baalaba abantu nga bayitawo. Kabaka naye n’asomoka akagga Kidulooni, abantu bonna ne bayitawo ne boolekera eddungu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bonna ne bakaaba n'eddoboozi ddene, abantu bonna ne basomoka; ne kabaka naye n'asomoka akagga Kidulooni, ne bagenda mu ddungu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bonna ne bakuba ebiwoobe nga kabaka ne be yali nabo bonna bagenda. Kabaka n'abantu bonna be yali nabo ne basomoka akagga Kidurooni, ne bagenda mu ddungu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ensi yonna ne bakaaba n'eddoboozi ddene, abantu bonna ne basomoka: ne kabaka naye n'asomoka akagga Kidulooni,abantu bonna ne basomokera awali ekkubo eridda mu ddungu.