2 Samuel 15:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne Zadoki n'atuuka n'Abaleevi bonna nga bali naye basitudde Ssanduuku y'Endagaano ya Katonda. Ne bawummuza wansi Ssanduuku y'Endagaano ya Katonda, Abiyatari n'atambira ebitambiro okutuusa abantu bonna lwe baafuluma mu kibuga ne baggwaamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zadooki awamu n’Abaleevi bonna abaali awamu naye, abaasitulanga essanduuko ey’endagaano ya Mukama, baagenda ne kabaka. Essanduuko ya Katonda ne bagissa wansi, Abiyasaali naye n’ayambuka okuwaayo ssaddaaka okutuusa abantu bonna bwe baggwa mu kibuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabona, Zadoki naye n'ajja n'Abaleevi bonna nga basitudde essanduuko ya Katonda ey'endagaano. Ne Abiyasaali n'agenda. Essanduuko ya Katonda ne bagiwummuza wansi, okutuusa abantu bonna lwe baamala okuva mu kibuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabona Zaddooki naye n'ajja n'Abaleevi bonna, nga basitudde Essanduuko ya Katonda ey'Endagaano. Ne Abiyataari n'agenda. Essanduuko ya Katonda ne bagiwummuza wansi, okutuusa abantu bonna lwe baamala okuva mu kibuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo, laba, Zadooki naye n'ajja n'Abaleevi bonna nga bali naye, nga basitula essanduuko ey'endagaano ya Katonda; ne bassa essanduuko ya Katonda, Abiyasaali n'ayambuka okutuusa abantu bonna lwe baamala okuva mu kibuga.