2 Samuel 15:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'agamba Zadoki nti: “Zzaayo Ssanduuku ya Katonda mu kibuga. Bwe ndiba nsanze ekisa mu maaso g'Omukama, alinkomyawo ne ngitunulako, n'ekifo w'abeera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka n’agamba Zadooki nti, “Zzaayo essanduuko ya Katonda mu kibuga. Bwe ndiraba ekisa mu maaso ga Mukama, alinkomyawo, ne ngirabako n’ekifo Mukama ky’abeeramu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Kabaka n'agamba Zadoki nti, “Essanduuko ya Katonda gizzeeyo mu kibuga. Mukama bw'aliba ankwatiddwa ekisa, alinkomyawo ne ngiraba yo era n'ennyumba ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka n'agamba Zaddooki nti: “Essanduuko ya Katonda gizzeeyo mu kibuga. Mukama bw'aliba ankwatiddwa ekisa, alinkomyawo ne ngiraba era n'ekifo kye mw'abeera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka n'agamba Zadooki nti Situla essanduuko ya Katonda ogizzeeyo mu kibuga: bwe ndiraba ekisa mu maaso ga Mukama, alinkomyawo, aligindaga yo era n'ennyumba ye: