2 Samuel 15:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'agamba Zadoki kabona nti: “Toli mulabi? Ddayo mu kibuga mu ddembe, wamu ne mutabani wo Akimaazi ne Yonatani mutabani wa Abiyatari; batabani bammwe bombi babeere nammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate era kabaka n’agamba Zadooki nti, “Toli mulabi? Ddayo mu kibuga mirembe, ne mutabani wo Akimaazi ne mutabani wa Abiyasaali, Yonasaani. Ggwe ne Abiyasaali muddeeyo ne batabani bammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kabaka n'agamba Zadoki kabona nti, “Ggwe toli mulabi? Ddayo mu kibuga mirembe, ne batabani bo bombi, Akimaazi mutabani wo ne Yonasaani mutabani wa Abiyasaali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka era n'agamba Zaddooki kabona nti: “Oli mulabi? Situka oddeyo mirembe mu kibuga, wamu ne mutabani wo Ahimaazi, ne Yonataani mutabani wa Abiyataari.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kabaka n'agamba Zadooki kabona nti Ggwe toli mulabi? ddayo mu kibuga mirembe, ne batabani bo bombi naawe, Akimaazi mutabani wo ne Yonasaani mutabani wa Abiyasaali.