2 Samuel 15:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abusalomu ng'amwanukula nti: “Wulira! Ensonga yo nnungi era ntuufu naye ewa kabaka teri anaakuwulira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abusaalomu n’alyoka amugamba nti, “Laba, ensonga ntuufu era etegeerekeka, naye tewali muntu anaagikulamulira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abusaalomu n'amugamba nti, “Ebigambo byo birungi; naye tewali muntu kabaka gw'asigidde ku kuwuliriza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abusaalomu ng'amugamba nti: “Laba, ensonga yo nnungi era ntuufu, naye tewali muntu n'omu kabaka gw'asigidde kugiwulira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abusaalomu n'amugamba nti Laba, ebigambo byo birungi bya nsonga; naye tewali muntu kabaka gw'atikkidde okukuwulira.