2 Samuel 15:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'ayambuka akasozi ka Oliva, ng'alinnya eno bw'akaaba; omutwe yali agubisse, ebigere bye nga byereere; n'abantu bonna abaali naye baagendanga bakaaba, emitwe nga bagibisse.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Dawudi n’alinnyalinnya n’alaga ku lusozi olw’Emizeeyituuni ng’akaaba, n’omutwe ng’agubisse era ng’ali mu bigere. Abantu bonna abaali awamu naye nabo baali beebisse emitwe era nga bakaaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'ayambuka ku lusozi olw'emizeyituuni, n'agenda ng'akaaba amaziga nga yeebisse ku mutwe era nga talina ngatto, n'abantu bonna abaali naye ne beebikka ku mitwe gyabwe ne bambuka nga bakaaba amaziga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi n'agenda ng'akaaba n'ayambuka ku lusozi olw'emiti emizayiti, nga yeebisse ku mutwe era nga tayambadde ngatto. N'abaali naye bonna, ne bagenda nga bakaaba ne bambuka, nga beebisse ku mitwe gyabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'alinnya awayambukirwa ku lusozi olw'emizeyituuni, n'akaaba amaziga ng'alinnya; era yali yeebisse omutwe nga talina ngatto: n'abantu bonna abaali naye ne beebikka buli muntu omutwe ne balinnya, nga bakaaba amaziga nga balinnya.