2 Samuel 15:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi ne bamubuulira nti ne Akitofeli yeekobye ne Abusalomu. Dawudi n'agamba nti: “Ayi Mukama, fulula ebibuuliriro bya Akitofeli.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’ategeezebwa nti, “Akisoferi ali omu ku abo abeekobaana ne Abusaalomu.” Dawudi n’asaba nti, “Ayi Mukama Katonda nkwegayiridde, fuula amagezi ga Akisoferi obusirusiru.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne wabaawo eyabuulira Dawudi nti, “Akisoferi ali mw'abo abeekobaanye ne Abusaalomu.” Dawudi n'asaba nti, “Nkwegayiridde, ayi Mukama, fuula okuteesa kwa Akisoferi okuba obusirusiru.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne wabaawo eyabuulira Dawudi nti: Ahitofeeli ye omu ku beekobye ne Abusaalomu. Dawudi n'agamba nti: “Ayi Mukama nkwegayiridde, faafaaganya amagezi ga Ahitofeeli g'awa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne wabaawo eyabuulira Dawudi nti Akisoferi ali mu bo abeekobaanye ne Abusaalomu. Dawudi n'ayogera nti Nkwegayiridde, ai Mukama, fuula okuteesa kwa Akisoferi okuba obusirusiru.