2 Samuel 15:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi bwe yatuuka waggulu w'olusozi, abantu gye baasinzizanga Katonda, n'asanga Kusayi Omwaruki ng'amulindiridde okumusisinkana; Engoye ze zaali ziyuliseyulise, ettaka nga lijjudde omutwe gwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi bwe yatuuka ku ntikko y’olusozi, abantu gye baasinzizanga Katonda, Kusaayi Omwaluki yaliyo okumusisinkana, ekkooti ye ng’eyulise n’omutwe gwe nga gujjudde enfuufu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi bwe yatuuka ku ntikko we basinzizanga Katonda, Kusaayi Omwaluki n'ajja okumusisinkana ng'ayuzizza ekizibawo kye nga yeesiize n'ettaka mu mutwe gwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi bwe yatuuka ku ntikko y'olusozi we baasinziza Katonda, Husaayi Omwaruki n'ajja okumusisinkana ng'ayuzizza ekyambalo kye era nga yeesize ettaka mu mutwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka Dawudi bwe yatuuka ku ntikko awalinnyirwa, kwe baayimanga okusinza Katonda, laba, Kusaayi Omwaluki n'ajja okumusisinkana ng'ayuzizza ekizibawo kye n'ettaka nga liri ku mutwe gwe: