2 Samuel 15:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bw'onodda mu kibuga, ogamba Abusalomu nti: ‘Ayi kabaka, nzija kukuweereza; luli nali muweereza wa kitaawo, naye kati ndi muweereza wo,’ olwo olinnyamba okusaabulula amagezi ga Akitofeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bw’onoddayo mu kibuga, n’ogamba Abusaalomu nti, ‘Ndibeera omuddu wo, ayi kabaka; nga bwe naweerezanga kitaawo mu biro eby’edda, bwe ntyo bwe nnaakuweerezanga,’ onooba ombedde mu nsonga ey’okulemesa Akisoferi, afuuse omuwi w’amagezi owa Abusaalomu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye bw'onoddayo mu kibuga n'ogamba Abusaalomu nti, ‘Nze nnabanga omuddu wo, ayi kabaka; nga bwe nnabanga omuddu wa kitaawo mu biro eby'edda;’ olwo ojja kutataganya okuteesa kwa Akisoferi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bw'onoddayo mu kibuga, n'ogamba Abusaalomu nti: ‘Nze nja kuba muweereza wo, ayi kabaka, nga bwe nabanga omuweereza wa kitaawo mu biseera eby'edda, era bwe ntyo bwe nnaaba omuweereza wo kaakano’ onoolemesa amagezi Ahitofeeli g'awa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye bw'onoddayo mu kibuga n'ogamba Abusaalomu nti Nze naabanga omuddu wo, ai kabaka; nga bwe nnabanga omuddu wa kitaawo mu biro eby'edda, bwe ntyo bwe naabanga omuddu wo kaakano: kale ononzitira okuteesa kwa Akisoferi.