2 Samuel 15:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zadoki ne Abiyatari bakabona tebajja kubeera eyo naawe? Kyonna ky'oliwulira mu lubiri lwa kabaka, okitegeezanga Zadoki ne Abiyatari bakabona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zadooki ne Abiyasaali tebaliiyo? Kale bategeeze ekigambo kyonna ky’onoowulira mu lubiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bakabona Zadoki ne Abiyasaali bajja kubeerayo wamu naawe, kale buli kigambo kyonna ky'onoowuliranga okuva mu nnyumba ya kabaka, onookibuuliranga bakabona Zadoki ne Abiyasaali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabona Zaddooki ne Abiyataari bajja kubeerayo wamu naawe. Kale babuulirenga byonna by'onoobanga owulidde mu lubiri lwa kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era tolina eyo wamu naawe Zadooki ne Abiyasaali bakabona? awo olunaatuukanga buli kigambo kyonna ky'onoowuliranga okuva mu nnyumba ya kabaka, onookibuuliranga Zadooki ne Abiyasaali bakabona.