2 Samuel 15:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Batabani baabwe babiri baali nabo: Akimaazi owa Zadoki ne Yonatani owa Abiyatari; mubatumenga bantuuseeko kyonna ky'onoobanga owulidde.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Batabani baabwe ababiri, Akimaazi mutabani wa Zadooki ne Yonasaani mutabani wa Abiyasaali nabo bali eyo, era abo boonoontumiranga bwe wanaabangawo ensonga yonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, batabani baabwe bombi bali nabo eyo, Akimaazi mutabani wa Zadoki ne Yonasaani mutabani wa Abiyasaali; abo be munaantumiranga okuntegeeza buli kye munaawuliranga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eyo gye bali, balinayo batabani baabwe bombi: Ahimaazi mutabani wa Zaddooki ne Yonataani mutabani wa Abiyataari. Era abo be munantumiranga okuntegeeza buli kye munaawuliranga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, balina eyo gye bali batabani baabwe bombi. Akimaazi mutabani wa Zadooki ne Yonasaani mutabani wa Abiyasaali; era abo be munaantumiranga okuntegeeza buli kigambo kye munaawuliranga.