2 Samuel 15:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Abusalomu ng'agamba nti: “Singa nno mbadde nnondeddwa ku bulamuzi mu nsi, olwo buli alina ekizibu oba ensonga yandizze gye ndi, nange nandimwejjeerezza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate era Abusaalomu yayongerangako ne kino nti, “Singa nnondebwa okuba omukulembeze mu nsi, olwo buli muntu alina ensonga anajjanga gye ndi, ne mukolera ku nsonga ye.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abusaalomu n'ayogeranga era nti, “Singa nze mulamuzi mu nsi! Buli muntu eyandizenga gyendi ng'alina ensonga nali mulamuliddenga mu mazima.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abusaalomu n'ayongerangako nti: “Singa nali mulamuzi mu nsi muno, buli muntu eyandizzenga gye ndi ng'alina ensonga yonna oba omusango, nandimusaliddenga mu mazima.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abusaalomu n'ayogeranga era nti Singa nze nfuuliddwa mulamuzi mu nsi, buli muntu alina ensonga yonna oba musango ajjenga gye ndi, nange nandimukoledde eby'ensonga!