2 Samuel 15:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuntu bwe yasemberanga gy'ali amuvunnamire, nga ye agolola omukono, ng'amukwata ng'amunywegera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate era omuntu yenna eyajjanga n’amuvuunamira ng’amuwa ekitiibwa, yagololanga omukono gwe, n’amukwatako n’amunywegera ng’amulamusa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omuntu bwe yasemberanga awali Abusaalomu okumuvuunamira, nga Abusaalomu agolola omukono gwe ng'amukwatako era ng'amunywegera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omuntu, bwe yasemberanga awali Abusaalomu okumuvuunamira, nga Abusaalomu agolola omukono gwe ng'amukwatako era ng'amunywegera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka omuntu yenna bwe yasemberanga okumweyanza, n'agololanga omukono gwe n'amukwatako n'amunywegera.