2 Samuel 15:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayisirayeli bonna abajjanga ewa kabaka, nga baagala kabaka abawulirize, Abusalomu bwe yabakolanga atyo; n'asikiriza emitima gy'abasajja ba Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo Abusaalomu bwe yeeyisanga eri Abayisirayiri bonna abajjanga eri kabaka nga baagala okubalamulira ensonga zaabwe. Ekyavaamu n’abba emitima gy’abantu ba Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abusaalomu bwe yakolanga Abaisiraeri bonna abajjanga eri kabaka okubalamula; n'abba bwatyo emyoyo gy'abantu ba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abusaalomu n'akolanga bw'atyo ku buli Muyisirayeli eyajjanga ewa kabaka okumumalira ensonga, Abusaalomu n'alimbalimba bw'atyo abantu ba Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bw'atyo Abusaalomu bwe yakolanga Isiraeri yenna abajjanga eri kabaka okusalirwa emisango: awo Abusaalomu n'abba bw'atyo emyoyo gy'abasajja ba Isiraeri.