2 Samuel 15:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga wayise emyaka ena, Abusalomu n'agamba kabaka nti: “Nkwegayiridde, ka ŋŋende mu Keburoni, ntuukirize kye neetema ew'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma lw’emyaka ena, Abusaalomu n’agamba kabaka nti, “Nkwegayiridde, nzikiriza ŋŋende e Kebbulooni, ntuukirize obweyamo bwange bwe nakola eri Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka emyaka ena (4) bwe gyayitawo, Abusaalomu n'asaba kabaka nti, “Nkwegayiridde ka ŋŋende e Kebbulooni nsasule obweyamo bwange eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe waayitawo emyaka ena, Abusaalomu n'agamba kabaka nti: “Nkwegayiridde, nzikiriza ŋŋende e Heburooni ntuukirize obweyamo bwange bwe neeyama eri Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka emyaka ana bwe gyaggwa Abusaalomu n'agamba kabaka nti Nkwegayiridde ŋŋende nsasule obweyamo bwange, bwe nneeyama Mukama, e Kebbulooni.