2 Samuel 15:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuweereza wo yeetema bwe nali e Gessuru eky'omu Aramu nti: ‘Omukama bw'alinziza mu Yeruzaalemu, ndisinza Omukama e Keburoni.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuweereza wo bwe yabeeranga e Gesuli mu Busuuli, nakola obweyamo nga ŋŋamba nti, ‘ Mukama bw’alinzizaayo e Yerusaalemi, ndisinza Mukama.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga omuddu wo bwe yali e Gesuli mu Busuuli yeeyama eri Mukama nti, ‘Mukama bwalinkomyawo e Yerusaalemi ndimuweereza.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe nali mu Gesuri eky'omu Aramu, neeyama nti: ‘Singa Mukama alinkomyawo mu Yerusaalemu, ndimusinziriza mu Heburooni.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga omuddu wo yeeyama obweyamo bwe nnali nga ntuula e Gesuli mu Busuuli, nga njogera nti Mukama bw'alinzirizaayo ddala e Yerusaalemi, kale ndiweereza Mukama.