2 Samuel 16:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi yali yaakavvuunuka akatunnumba k'olusozi, Ziba omuweereza wa Mefiboseti, n'ajja okumusisinkana. Yalina endogoyi bbiri entandiike nga zeetisse emigaati ebikumi bibiri, ebitole by'emizabbibu emiwotose kikumi, ebibala eby'ekyeya kikumi, n'endyanga y'evviini.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi bwe yali ng’atambuddeko ebbanga ttono n’okuva awaali olusiisira, Ziba omuddu wa Mefibosesi n’ajja okumusisinkana. Yalina endogoyi bbiri eziriko amatandiiko, nga zeetisse emigaati ebikumi bibiri, n’ebirimba eby’ezabbibu enkalu kikumi, n’ebirimba eby’ebibala eby’ekyeya kikumi, n’ekita kya wayini.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi bwe yali ng'ayise katono ku ntikko y'olusozi, Ziba omuddu wa Mefibosesi n'amusisinkana ng'alina endogoyi bbiri (2) eziriko amatandiiko, nga zeetisse emigaati bibiri (200), n'ebirimba eby'ezabbibu enkalu kikumi (100), n'ebibala eby'ekyeya kikumi (100), n'ensawo ey'omwenge ey'eddiba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi bwe yali ng'ayisizza katono entikko y'olusozi, n'asisinkana Ziba omuweereza wa Mefiboseti, ng'alina endogoyi bbiri eziriko amatandiiko, nga zeetisse emigaati ebikumi bibiri, n'ebirimba kikumi eby'emizabbibu emikalu, n'ebirala kikumi eby'ebibala eby'omu kyeya, n'ensawo y'omwenge ey'eddiba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi bwe yali ng'ayise ku ntikko awayambukirwa ebbanga ttono, laba, Ziba omuddu wa Mefibosesi n'asisinkana naye ng'alina endogoyi bbiri eziriko amatandiiko, nga zeetisse emigaati ebikumi bibiri n'ebirimba eby'eza bbibu enkalu kikumi, n'eby'ebibala eby'ekyeya kikumi, n'ekita ky'omwenge.