2 Samuel 16:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'amugamba nti: “ Batabani ba Zeruya, ogubadde nze nammwe? Oba avumirira ng'Omukama y'amulagidde nti: ‘Vumirira Dawudi,’ ani anaamubuuza ate nti: ‘Lwaki kino okikola?’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kabaka n’ayogera nti, “Luganda ki lwe nnina nammwe, mmwe batabani ba Zeruyiya? Bw’aba ng’ankolimira kubanga Mukama ye yamugambye nti, ‘Kolimira Dawudi,’ ani ayinza okubuuza nti, ‘Kiki ekikukoza bw’otyo?’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka n'agamba nti, “Kiki kyenina okukola nammwe batabani ba Zeruyiya? Bwaba nga akolima nga Mukama y'amugambye nti, ‘Kolimira Dawudi;’ Kale ani anaayogera nti, ‘Kiki ekikukozeseza bw'otyo?’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'agamba Abisaayi nti: “Mundeke mmwe batabani ba Zeruyiya! Bw'aba ng'avuma, nga Mukama ye amugambye nti: ‘Vuma Dawudi,’ ani anaagamba nti: ‘Lwaki okoze bw'otyo?’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka n'ayogera nti Nfaayo ki eri mmwe, mmwe batabani ba Zeruyiya? Kubanga akolima era kubanga Mukama amugambye nti Kolimira Dawudi; kale anaayogera nti Kiki ekikukozezza bw'otyo?