2 Samuel 16:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'agamba Abisayi n'abakungu be bonna nti: “Wuuno mutabani wange gwe neezaalira nzennyini anoonya bulamu bwange, leero nno ate ono omwana Omubenyamiini! Mumuleke avumirire, oboolyawo ng'Omukama bw'amulagidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’agamba Abisaayi n’abakungu be bonna nti, “Obanga mutabani wange, ow’omusaayi gwange agezaako okunzita, naye ate Omubenyamini oyo. Mumuleke, akolime, kubanga Mukama amulagidde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omubenyamini mumuleke avume kubanga Mukama yamulagidde. Olaba ne mutabani wange gwenezaalira naye ayagala okunzita!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'agamba Abisaayi n'abaweereza be bonna nti: “Kaakano, oba mutabani wange nze kennyini gwe nneezaalira ye ayagala okunzita, kale alabisa Omubenyamiini oyo? Mumuleke avume, kubanga Mukama ye amulagidde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'agamba Abisaayi n'abaddu be bonna nti Laba, mutabani wange eyava mu ntumbwe zange anoonya obulamu bwange: Omubenyamini oyo taasinge nnyo? mumuleke akolime; kubanga Mukama amulagidde.