2 Samuel 16:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abusalomu n'abantu be bonna aba Yisirayeli ne bayingira mu Yeruzaalemu, ne Akitofeli yali naye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera kye kimu, Abusaalomu n’abantu bonna aba Isirayiri ne bajja e Yerusaalemi, ne Akisoferi n’ajja naye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abusaalomu ng'ali ne Akisoferi n'abasajja bonna Abaisiraeri ne bayingira Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abusaalomu n'abantu bonna Abayisirayeli ne bayingira Yerusaalemu, nga Abusaalomu ali wamu ne Ahitofeeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abusaalomu n'abantu bonna abasajja ba Isisaeri ne bajja e Yerusaalemi ne Akisoferi wamu naye.