2 Samuel 16:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abusalomu n'agamba Kusayi nti: “Bw'otyo bw'olaga bw'oyagala mukwano gwo? Lwaki tewagenze ne mukwano gwo?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abusaalomu n’abuuza Kusaayi nti, “Bw’otyo bw’olaga okwagala eri mukwano gwo Kabaka Dawudi? Kiki ekyakulobedde okugenda ne mukwano gwo?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abusaalomu n'abuuza nti, “Kusaayi nti, Bw'otyo bwoyagala mukwano gwo Dawudi? Kiki ekyakulobera okugenda naye?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abusaalomu n'abuuza Husaayi nti: “Kuno kwe kwagala kw'oyagalamu mukwano gwo? Lwaki tewagenda ne mukwano gwo Dawudi?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abusaalomu n'agamba Kusaayi nti Kino kye kisa kyo eri mukwano gwo? ekyakulobera okugenda ne mukwano gwo kiki?