2 Samuel 16:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kusayi n'ayanukula Abusalomu nti: “Nedda, oyo alondeddwa Omukama n'abantu bano ne Yisirayeli yenna, oyo gwe nnaaweereza, gwe nnaasigala naye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kusaayi n’addamu Abusaalomu nti, “Nedda. Oyo Mukama gw’anaalonda, n’abantu bano, n’abasajja bonna aba Isirayiri, n’abanga wuwe era n’abeeranga naye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kusaayi n'addamu Abusaalomu nti, “Oyo Mukama n'abantu bonna Abaisiraeri gwe balonze, nange n'abeeranga wuwe era n'abanga naye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Husaayi n'agamba Abusaalomu nti: “Nedda, nze nnaabeeranga w'oyo Mukama n'abantu bano n'Abayisirayeli bonna gwe balonze, era ye gwe nnaabeeranga naye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kusaayi n'agamba Abusaalomu nti Nedda; naye oyo Mukama n'abantu bano n'abasajja ba Isiraeri bonna gwe balonze n'abanga wuwe era n'abeeranga naye.